11/03/2026
Kkooti esookerwako e Rukungiri esindise Fortunate Kyarikunda mu kkomera yebakeyo emyezi mukaaga (6) lwakugaana kufumbirwa musajja nga bweyasuubiza ng’amaze okusoma.
Mu 2015 omusomesa wa Pulayimale, Richard Tumwiine ng’aweza emyaka 60 egy’obukulu yagwa mu mukwano ne Fortunate Kyarikunda ng’essaawa eno ali mu myaka nga 30 nasalawo n’okumuweerera dipulooma mu by’okukwasisa amateeka ku Law Development Centre (LDC) n’ekigendererwa okumuwasa ng’amaze okusoma kyokka ono bweyamala okusoma eby’okufumbirwa Tumwiine yabigaana ng’alumiriza nti ono mukadde nnyo ku ye.
Mu 2023 Tumwiine yaddukira mu kkooti y’eddaala erisooka e Kannungu eyalagira Kyarikunda okusasula ensimbi zonna Tumwiine zeyamuteekamu ng’asoma kwossa zeyasaasanyiza mu musango ogwo ng’omugatte zikola obukadde 14 nezigwamu (14,099,100) kyokka Kyarikunda naalemwa okuzisasula era awo Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Rukungiri, Dinah Nekesa wasinzidde okumusiba emyezi 6 yetereeze.